Joshua 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse nga babagalidde ebyokulwanyisa baasomoka nga bakulembeddemu Abayisirayeli, nga Musa bwe yali abalagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne basomoka ne bayita ku Bayisirayiri bonna nga babagalidde ebyokulwanyisa nga Musa bwe yabagamba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, ne bakulembera abaana ba Isiraeri nga bakutte eby'okulwanyisa, nga Musa bwe yabagamba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Rewubeeni n'ab'omu kya Gaadi, n'ab'ekimu ekyokubiri eky'ab'omu Kika kya Manasse ne bakulemberamu Abayisirayeli abalala, nga balina ebyokulwanyisa, nga Musa bwe yali abagambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Lewubeeni; n'abaana ba Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, ne bakulembera abaana ba Isiraeri ne bayita nga balina ekyokulwanyisa, nga Musa bwe yabagamba: