Joshua 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Omukama yagulumiza Yoswa mu maaso ga Yisirayeli yenna, bamutye nga bwe baali batidde Musa ennaku zonna ez'obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo Mukama n’agulumiza nnyo Yoswa mu maaso g’Abayisirayiri bonna, ne bamussaamu ekitiibwa ennaku zonna ez’obulamu bwe nga bwe baakolanga Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo Mukama n'akuza Yoswa mu maaso g'Abaisiraeri bonna; ne bamutya, nga bwe baatyanga Musa, ennaku zonna ez'obulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bye yakola ku lunaku olwo ne bireetera Abayisirayeli okumanya nga Yoswa muntu mukulu. Ne bamussangamu ekitiibwa ennaku zonna ez'obulamu bwe, nga bwe baakissangamu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo Mukama n'akuza Yoswa mu maaso ga Baisiraeri bonna: ne bamutya, nga bwe baatyanga Musa; ennaku zonna ez'obulamu bwe.