Joshua 4:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baayambuka nga beetisse Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama, bakabona olwassa bati ekigere ku lukalu, amazzi ne gadda mu kifo kyago, ne gakulukuta nga mu masooka, nga gaaladde ku mbalama zaago zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama olwalinnya ebigere byabwe ku lukalu, amazzi gonna aga Yoludaani ne gakomawo mu kkubo lyago n’okwanjaala ne ganjaala nga bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe baamala okwambuka okuva mu Yoludaani; n'ebigere bya bakabona bwe byalinnya ku lukalu, amazzi ga Yoludaani, ne gaddamu okukulukuta n'okwanjaala ku mbalama zaagwo ng'edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabona abaasitula Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bwe baayambuka ne bava mu Yorudaani, ne balinnya ku lukalu, amazzi gaagwo ne gaddamu okukulukuta n'okwanjaala ku mbalama zaagwo, ng'edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe baamala okulinnya okuva wakati mu Yoludaani, n'ebigere bya bakabona ne birinnyibwa ku lukalu, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gadda mu kifo kyago, ne gayanjaala ku ttale lyagwo lyonna, ng'edda.