Joshua 4:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi omubereberye abantu ne basitula okuva ku Yorudani, ne bambuka, ne basiisira e Gilugali, ku njegooyego za Yeriko ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo Abayisirayiri ne basitula okuva ku Yoludaani ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’olubereberye ne batuuka e Girugaali ne basiisira awo kumpi n’ensalo ey’ebuvanjuba eya Yeriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne basomoka Yoludaani ku lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogwolubereberye, ne basula e Girugaali mu buvanjuba bwa Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu baasomoka Yorudaani ku lunaku olw'ekkumi, mu mwezi ogw'olubereberye, ne basula e Gilugaali mu buvanjuba bwa Yeriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne balinnya ne bava mu Yoludaani ku lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogw'olubereberye ne basula mu Girugaali, mu nsalo ey'ebuvanjuba ey'e Yeriko.