Joshua 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amayinja ekkumi n'abiri ge baali baggye mu Yorudani, Yoswa n'agasimba e Gilugali,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amayinja ekkumi n’abiri agaggibwa mu Yoludaani, Yoswa n’agasimba mu Girugaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amayinja gali ekkumi n'abiri (12) ge baggya mu Yoludaani, Yoswa n'agasimba mu Girugaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo Yoswa gye yasimba amayinja ekkumi n'abiri ge baggya mu Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amayinja gali ekkumi n'abiri ge baggya mu Yoludaani, Yoswa n'agasimba mu Girugaali.