Joshua 4:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba Abayisirayeli nti: “Eyo gye bujja abaana bammwe bwe babuuzanga bajjajjaabwe nti: ‘Amayinja gano gaaki?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba Abayisirayiri nti, “Abaana bammwe bwe balibabuuza amakulu g’amayinja gano,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Abaana bammwe bwe banaabuuzanga bakitaabwe mu biro ebigenda okujja, nti, ‘Amakulu g'amayinja gano ki?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Abayisirayeli nti: “Mu biseera ebijja abaana bammwe bwe banaababuuzanga amayinja gano kye gategeeza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Abaana bammwe bwe banaabuuzanga bakitaabwe mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti Amakulu g'amayinja gano ki?