Joshua 4:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yorudani mu maaso gammwe, okutuusa lwe mwasomoka, nga bwe yakola luli ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa, gye yakaliza mu maaso gaffe okutuusa nga tusomose.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’akaliza omugga ogwo okutuusa nga bamaze okugusomoka ne kifaananako nga Mukama Katonda bwe yakola Ennyanja Emyufu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso gammwe, okutuuka bwe mwamala okusomoka, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakola Ennyanja Emmyufu, gye yakaliza mu maaso gaffe, okutuuka bwe twamala okusomoka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaabategeezanga nga Mukama Katonda wammwe bwe yakaliza amazzi ga Yorudaani, okutuusa lwe mwamala okusomoka, nga bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu nga mugisomoka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso gammwe, okutuuka bwe mwamala okuyita; nga Mukama Katonda wammwe bwe yakola Ennyanja Emmyufu, gye yakaliza mu maaso gaffe; okutuuka bwe twamala okuyita: