Joshua 4:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo abantu bonna mu nsi balyoke bategeere nti omukono gw'Omukama gwa maanyi, nammwe mulyoke mutye Omukama Katonda wammwe obudde bwonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byabaawo abantu b’omu nsi yonna bategeere ng’omukono gwa Mukama gwa maanyi era nammwe mulyoke mutye Mukama Katonda wammwe emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amawanga gonna ag'ensi galyoke gamanye omukono gwa Mukama nga gwa maanyi; batyenga Mukama Katonda wammwe emirembe egitaggwaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwa kino, ab'amawanga gonna ku nsi balimanya obuyinza bwa Mukama nga bwe buli obw'amaanyi, era mulissaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amawanga gonna ag'ensi galyoke gamanye omukono gwa Mukama nga gwa maanyi; batyenga Mukama Katonda wammwe emirembe egitaggwaawo.