Joshua 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obalagire mu makkati ga Yorudani, wennyini bakabona we bayimiridde, baggyewo amayinja kkumi n'abiri, mugende nago, mugateeke mu kifo we munaasula ekiro kino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obakuutire nti, “Mulonde amayinja kkumi n’abiri nga mugaggya wakati mu mugga Yoludaani awo wennyini bakabona we balinnye ebigere byabwe, mugende nago okutuukira ddala we munaasula ekiro kino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era mubalagire, balonde amayinja kkumi n'abiri (12) wakati mu Yoludaani, mu kifo kye nnyini bakabona we baayimiridde mugatwale mugateeke mu kifo kye munaasulamu ekiro kino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era mu balagire balonde amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudaani, mu kifo wennyini bakabona mwe baayimiridde, bagatwale bagateeke mu kifo kye munaasulamu ekiro kino.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mubalagire, nga mwogera nti Mulonde wano wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona mwe byanyweredde, amayinja kkumi n'abiri, mugasomose, mugasse mu kisulo, kye munaasulamu ekiro kino.