Joshua 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Mukulembereemu Essanduuku y'Omukama Katonda wammwe mu makkati ga Yorudani. Buli omu yeetikke ejjinja limu ku kibegabega, ng'ebika bya Yisirayeli bwe byenkana,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukulembere mu maaso g’Essanduuko ya Mukama Katonda wammwe era buli omu ku mmwe alonde ejjinja limu ng’aliggya mu mugga guno Yoludaani alyetikke ku kibegabega kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'abagamba nti, “Mukulembere essanduuko ya Mukama Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, buli muntu mu mmwe asitule ejjinja ku kibegabega kye, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abagamba nti: “Mutambule mutuuke wakati mu Yorudaani awali Essanduuko ya Mukama, Katonda wammwe. Buli omu ku mmwe asitule ejjinja, alisse ku kibegabega kye, buli kika kya Yisirayeli ejjinja limu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'abagamba nti Mukulembere essanduuko ya Mukama Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, musitule buli muntu mu mmwe ejjinja ku kibegabega kye, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli: