Joshua 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubaddangamu nti: ‘Engezi ya Yorudani yakutulibwako mu maaso g'Essanduuku y'Endaagano y'Omukama. Amazzi ga Yorudani gaasalwako Ssanduuku y'Omukama bwe yali ng'esomoka; amayinja gano kijjukizo eri Abayisirayeli emirembe gyonna.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mulibagamba nti essanduuko y’Endagaano ya Mukama bwe yali ng’esomosebwa omugga Yoludaani, amazzi gaagwo ne geetuuma ng’ogusenge okutuusa Essanduuko bwe yamala okuyisibwawo. Kale amayinja gano, Abayisirayiri galibabeerera ekijjukizo emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga amazzi ga Yoludaani gaavaawo ne gasegulira essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yayita mu Yoludaani; era amayinja gano galibeera ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri emirembe egitaggwaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
munaabagambanga nti amazzi ga Yorudaani gavaawo ne gaviira Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yali ng'eyita mu Yorudaani. Amayinja gano ganajjukizanga bulijjo Abayisirayeli ebyo ebibaddewo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulyoke mubagambe nti Kubanga amazzi ga Yoludaani gaggwaawo mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama; bwe yayita mu Yoludaani, amazzi ne gaggwaawo: era amayinja gano galibeera ekijjuukizo eri abaana ba Isiraeri emirembe egitaggwaawo.