Joshua 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira. Ne baggya amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudani, okwenkanankana omuwendo gw'ebika bya Yisirayeli, ng'Omukama bwe yali alagidde Yoswa, ne bagatwala okutuuka mu kifo we baasula, ne bagassa awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja Abayisirayiri ne bakola nga Yoswa bwe yabakuutira, ne balonda amayinja kkumi n’abiri nga bagaggya mu mugga Yoludaani ng’omuwendo gw’ebika by’Abayisirayiri bwe gwali. Ne bagasitula okugatuusiza ddala we baali bagenda okusula nga Mukama bwe yagamba Yoswa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira, ne balonda amayinja kkumi n'abiri (12) wakati mu Yoludaani, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli; ne bagasomosa ne bagateeka mu kifo mwe baasula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira. Ne balonda amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudaani, limu limu erya buli kika kya Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ne bagatwala mu kifo mwe baasula, ne bagateeka eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Yoswa bw'abalagidde, ne balonda amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli; ne bagasomosa ne bagatuusa mu kifo mwe baasula, ne bagassaawo.