Joshua 4:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudani mu kifo bakabona abaali batwala Ssanduuku y'Endagaano we baali bayimiridde; gakyaliyo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’asimba amayinja kkumi n’abiri mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey’Endagaano we baalinnya era we gali ne kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano mwe byayimirira; era weegali ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri mu Yorudaani wakati, mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey'Endagaano mwe baayimirira. Amayinja ago gakyaliwo ne kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano mwe byayimirira: era weegali ne kaakano.