Joshua 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabaka bonna ab'Abaamori ebugwanjuba wa Yorudani, ne bakabaka bonna ab'Abakanaani abaali ku lubalama lw'Ennyanja Ennene, bwe baawulira ng'Omukama yakaza amazzi ga Yorudani mu maaso g'Abayisirayeli okutuusa lwe baamala okugusomoka, emitima ne gibatekemuka, ne babulwa n'otwanyi olw'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabaka ba ab’Amoli abaali emitala ebugwanjuba bw’omugga Yoludaani, ne bakabaka b’Abakanani abaliraanye ennyanja bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi g’omugga Yoludaani Abayisirayiri basobole okusomoka, ne batekemuka omwoyo olw’Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne bakabaka ab'Abakanani, abaali ku lubalama lw'ennyanja Eyawakati, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani okutuusa abaana ba Isiraeri lwe baamala okusomoka, ne batekemuka ne baggwamu amaanyi olw'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabaka bonna ab'Abaamori abaali ku ludda lwa Yorudaani olw'ebugwanjuba ne bakabaka ab'Abakanaani abaali ku lubalama lw'Ennyanja Eyaawakati, bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi ga Yorudaani okutuusa Abayisirayeli lwe baamala okusomoka, ne batya nnyo, ne baggwaamu amaanyi olw'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba; ne bakabona ab'Abakanani, abaali ku nnyanja, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okutuuka bwe twamala okusomoka, omutima gwabwe ne gusaanuuka, so nga tewakyali alina omwoyo mu bo; olw'abaana ba Isiraeri.