Joshua 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne basigala mu Gilugali, ne bakuliza awo Pasika akawungeezi ku lw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, mu lusenyi lwa Yeriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayisirayiri bwe baali bakyasiisidde e Girugaali embaga ey’Okuyitako n’etuuka era ne bagirya akawungeezi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, mu lusenyi lw’e Yeriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri bwe baali baasisidde e Girugaali, ne baakwata Okuyitako olw'eggulo ku lunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi mu lusenyi olw'e Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baali bakyasiisidde e Gilugaali mu lusenyi olw'e Yeriko, ne balya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, mu kawungeezi k'olunaku lw'omwezi olw'ekkumi n'ennya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne basula mu Girugaali; ne balya Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo mu lusenyi olw'e Yeriko.