Joshua 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera nga bamaze okulya ku bibala by'ensi eyo, manu n'ekoma; Abayisirayeli tebaddayo kufuna manu, wabula mu mwaka ogwo baalya bibala bya mu nsi y'e Kanaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere y’omu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwako; emmaanu n'erekera awo okugwa; awo ne batandika okulya emmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ne mannu n'erekera awo okugwa, Abayisirayeli ne bataddayo kugifuna. Okuva olwo ne balyanga emmere erimwa mu nsi y'e Kanaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emmaanu n'eggwaawo enkya, bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwaako; abaana ba Isiraeri ne bataba na mmaanu nate; naye ne balya ku mmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo.