Joshua 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa yali ali kumpi ne Yeriko, bwe yasitula amaaso n'alaba omusajja ng'amuyimiridde awo mu maaso, ng'akutte ekitala ekisowole mu mukono gwe. Yoswa n'agenda gy'ali n'amubuuza nti: “Oli waffe nandiki oli wa balabe baffe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso n’alaba omusajja akutte ekitala ekisowole ng’amwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera n’amubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye n’amuddamu nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, Yoswa bwe yali ng'asemberedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, omusajja ng'ayimiridde okumwolekera, ng'alina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amubuuza nti, “Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa bwe yali okumpi ne Yeriko, n'alaba omusajja ayimiridde mu maaso ge, ng'akutte ekitala ekisowole. Yoswa n'amusemberera, n'amubuuza nti: “Oli omu ku ffe oba oli omu ku balabe baffe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, Yoswa bwe yali ng'asembedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, nga wayimiridde omuntu okumwolekera eyalina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amugamba nti Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?