Joshua 5:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addamu nti: “Siriiko luuyi; kati nzize ng'omuduumizi w'eggye ly'Omukama.” Yoswa n'agwa wansi ku maaso ge ku ttaka, n'amuvunnamira, n'amubuuza nti: “Biki Mukama wange by'agamba omuweereza we?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Siriiko ludda. Nze mukulu w’eggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa n’agwa wansi, n’avuunama n’amusinza era n’amubuuza nti, “ Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja n'amuddamu nti, “Nedda; naye nze omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano.” Yoswa n'afukamira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti, “Mukama wange, kiki ky'ogamba omuddu wo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli n'addamu nti: “Nedda; naye nze mukulu w'eggye lya Mukama. Kaakano ntuuse.” Yoswa n'avuunama mu maaso ge n'asinza. N'agamba nti: “Mukama wange, ndi muweereza wo, kiki ky'oyagala nkole?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Nedda; naye omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano. Yoswa n'amufukaamirira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti Mukama wange agamba atya omuddu we?