Joshua 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuduumizi w'eggye ly'Omukama n'agamba Yoswa nti: “Naanula engatto mu bigere, kubanga ekifo w'oyimiridde kitukuvu.” Yoswa n'akola ekimulagiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukulu w’eggye lya Mukama n’amuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mw’oli kitukuvu.” Ne Yoswa naye n’akola nga bwe yalagirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti, “Ggyamu engato mu bigere byo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu.” Yoswa n'akola bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu w'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti: “Yambulamu engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu kitukuvu.” Yoswa n'akola bw'atyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti Yambula engatto yo mu kigere kyo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu. Yoswa n'akola bw'atyo.