Joshua 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Omukama n'agamba Yoswa nti: “Kola obwambe mu mayinja, oddemu okutayirira Abayisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Weekolere obwambe obw’amayinja amoogi, okomole abasajja bonna Abayisirayiri abatakomolwanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti, “Kola obwambe obw'amayinja, okomole abaana ba Isiraeri abatakomolebwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Kola obwambe obw'amayinja, okomole Abayisirayeli abo abatakomolebwanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti Weekolere obwambe obw'amayinja, okomole nate abaana ba Isiraeri omulundi ogw'okubiri.