Joshua 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eno ye nsonga okwava Yoswa okubatayirira: Abantu bonna abaali bavudde mu Misiri, abasajja abatabaazi bonna, baali bafiiridde mu ddungu mu lugendo lwabwe olwabaggya mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensonga Yoswa kyeyava abakomola y’eno: abasajja Abayisirayiri abaava e Misiri nga mwe muli n’abalwanyi bonna, baafiira mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eno ye nsonga Yoswa kye yava akomola abasajja; kubanga abasajja bonna abalwanyi abava mu Misiri nga bakomole baafiira mu kkubo mu ddungu nga bava e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa yabakomola lwa nsonga. Weewaawo Abayisirayeli okuva e Misiri abasajja bonna baali bakomole. Naye mu bbanga ery'emyaka amakumi ana, Abayisirayeli gye baatambula mu ddungu, abaana ab'obulenzi tebaakomolebwanga. N'ekirala, ebbanga eryo we lyaggweerako, abasajja bonna abaali basobola okulwana olutalo we baaviira mu Misiri, baali bafudde baweddewo, kubanga baali bajeemedde Mukama. Abo Mukama yalayira obutabaganya kulaba ku nsi ngimu era ngagga gye yasuubiza bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eno ye nsonga eyabakomoza Yoswa: abasajja bonna abaava mu Misiri, abalwanyi bonna, ne bafiira mu ddungu mu kkubo, bwe baamala okuva mu Misiri.