Joshua 5:6 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Abayisirayeli baabungeetera mu ddungu, emyaka amakumi ana, okutuusa abasajja bonna abaali abatabaazi nga bafudde, kubanga baali tebagondedde ddoboozi lya Mukama. Omukama yali alayidde nti talibaleka kulaba nsi gye yali alayiridde bajjajjaabwe okugituwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri baamala emyaka amakumi ana nga batambula mu ddungu okutuusa bonna, nga mwe muli n’abalwanyi, lwe baafa ne baggwaawo, kubanga baagaana okugondera eddoboozi lya Mukama era kyeyava abalayirira nti talibaganya kutuuka mu nsi eyo gye yasuubiza bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka ana (40) mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi bonna abaava e Misiri, lwe baggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama. Mukama kye yava alayira obutabaganya kulaba nsi gye yalayira bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka amakumi ana mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi abaava mu Misiri; lwe lyaggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama: Mukama be yalayirira obutabaganya kulaba nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okutuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.