Joshua 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeriko kyali kikomeddwa ggulugulu olw'Abayisirayeli, nga tewali afuluma oba ayingira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeriko kyali kiggaliddwawo ddala olw'okutya abaana ba Isiraeri; tewaali afuluma, newakubadde ayingira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enzigi za Yeriko zaali ziggaliddwawo ddala, olw'okwerinda Abayisirayeli, nga tewali n'omu ayingira, wadde afuluma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Era Yeriko kyali kiggaliddwawo ddala olw'abaana ba Isiraeri tewaali afuluma, newakubadde ayingira.)