Joshua 6:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa yali awadde abantu ekiragiro nti: “Temukuba enduulu oba okufulumya ku ddoboozi, wadde okwogera, okutuusa olunaku lwe ndibagamba okuleekaana; olwo nga muleekaana.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa n’alagira Abayisirayiri nti, “Temuleekaana wadde okwogerera waggulu, mutambule kasirise okutuusa ku lunaku olwo lwe ndibalagira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'alagira abantu nti, “ Temuleekaana n'eddoboozi lyammwe lireme okuwulirwa, n'ekigambo kyonna kireme okuva mu kamwa kammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira okuleekaana; ne mulyoka muleekaana.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yoswa yali alagidde basajja be nti: “Temuleekaana era temubaako kye mwogera, wadde okuwuliza eddoboozi lyammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira, olwo ne mulyoka muleekaana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'alagira abantu, ng'ayogera nti Temwogerera waggulu, n'eddoboozi lyammwe lireme okuwulirwa, n'ekigambo kyonna kireme okuva mu kamwa kammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira okwogerera waggulu; ne mulyoka mwogerera waggulu.