Joshua 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essanduuku y'Omukama n'agyetoolooza ekibuga olwetoolooza lumu; ate ne badda mu lusiisira ne basula omwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’etyo Essanduuko ya Mukama ne yeetooloozebwa ekibuga omulundi gumu olunaku olwo, ne beddirayo mu lusiisira lwabwe ne beebaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo ne beetoolooza essanduuko ya Mukama ekibuga omulundi gumu. Ne baddayo mu lusiisira lwabwe ne basula omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'abalagira okutwala Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bagyetoolooze ekibuga omulundi gumu. Olwo ne badda mu lusiisira ne basula omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo yagyetoolooza ekibuga essanduuko ya Mukama, nga bakyetooloodde omulundi gumu ne bayingira mu lusiisira, ne basula mu lusiisira.