Joshua 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa yazuukuka ku maliiri; bakabona ne basitula Ssanduuku y'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’akeera nnyo mu makya, ne bakabona ne basitula Essanduuko ya Mukama,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku olwokubiri ku makya Yoswa n'agolokoka, ne bakabona ne basitula essanduuko ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'azuukuka ku makya ku lunaku olwaddirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bakabona ne basitula essanduuko ya Mukama.