Joshua 6:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku mulundi ogwomusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti: “Muleekaane, kubanga Omukama abawadde ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku mulundi ogw’omusanvu nga bakabona bamaze okufuuwa amakondeere, Yoswa n’alagira abantu nti, “Muleekaane kubanga Mukama abawadde ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku mulundi ogw'omusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti, “Muleekaane; kubanga Mukama abawadde ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mulundi ogw'omusanvu bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba basajja be nti: “Muleekaane, kubanga ekibuga Mukama akibawadde!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku mulundi ogw'omusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti Muleekaane; kubanga Mukama abawadde ekibuga.