Joshua 6:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino ekibuga na byonna ebikirimu bisaliddwa okuzikirizibwa ku lw'Omukama. Malaaya Rakabu yekka y'aba awonawo ne bonna abali naye mu nyumba, kubanga yakweka abakessi be twasindika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ekibuga n’ebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo n’abantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga ne byonna ebikirimu biweereddwayo eri Mukama bizikirizibwe; okuggyako Lakabu omwenzi ne bonna abali awamu naye mu nnyumba ye be baliwona, kubanga Lakabu yakweka abakessi be twatuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga n'ebikirimu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe. Rahabu malaaya n'ab'omu nnyumba ye be bokka ab'okutalizibwawo, kubanga yakweka abakessi be twatuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekibuga kiriterekerwa Mukama, ekibuga ne byonna ebirimu: Lakabu omwenzi y'aliwona yekka, ye ne bonna abali awamu naye mu nnyumba, kubanga yakweka abatume, be twatuma.