Joshua 6:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe mwewale ebisaliddwa okuzikirizibwa, sikulwa nga nammwe mwereetera ekikolimo, n'ensiisira zonna eza Yisirayeli ne zivumirirwa, ne zizikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo n’okuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe mwewalire ddala okutwala ku biweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme okuleetera olusiisira lwa Isiraeri emitawaana n'okuzikirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mwewalire ddala okubaako kye mutwala ku by'okuzikiriza. Bwe munaatwalako, mujja kuleetera olusiisira lw'Abayisirayeli emitawaana n'okuzikirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe mwewalire ddala mu biterekeddwa Mukama, muleme okutwala ku biterekeddwa, nga mumaze okubitereka; bwe mutyo mwandifudde olusiisira lwa Isiraeri olukolimiddwa, era mwandirweraliikirizza;