Joshua 6:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yenna zaabu ne ffeeza, na buli kintu eky'ekikomo n'eky'ekyuma biwongeddwa Omukama; bya kutereka mu nkuluze y'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ffeeza ne zaabu n’ebintu byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye effeeza yonna n'ezaabu, n'ebintu eby'ebikomo n'eby'ebyuma, bye bitukuvu eri Mukama; birireetebwa ggwanika lya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebintu byonna ebya ffeeza, n'ebya zaabu, n'eby'ekikomo, n'eby'ekyuma, byawuliddwa Mukama, bya kutwalibwa mu ggwanika lya Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye effeeza yonna n’ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby’ebyuma bye bitukuvu eri Mukama; birijja mu ggwanika lya Mukama.