Joshua 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Kati Yeriko ne kabaka waakyo n'abatabaazi bonna mbawadde mu mikono gyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko nkikuwadde mu mukono gwo, ne kabaka waamu, n'abazira ab'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Yoswa nti: “Ntadde mu mikono gyo ekibuga Yeriko ne kabaka waamu, n'abalwanyi ab'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Yoswa nti Laba, nkukiwadde mu mukono gwo Yeriko, ne kabaka waamu, n'abazira ab'amaanyi.