Joshua 6:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eŋŋombe bwe zaafuuyibwa, abantu bonna ne baleekaana; abantu bwe baawulira okuvuga kw'eŋŋombe, ne baleekaanira waggulu; bbugwe n'ayeguukulukuka; buli omu n'ayingira butereevu, ne bawamba ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ng’amakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera n’eddoboozi ery’omwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baafuuwa eŋŋombe, abantu ne bawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, ne baleekaana n'eddoboozi eddene, bbugwe n'agwiira ddala wansi, eggye lyonna neriyingira butereevu mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabona ne bafuuwa eŋŋombe. Abasajja bwe baawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, ne baleekaana n'eddoboozi ery'omwanguka, ekisenge ekyetoolodde ekibuga ne kigwa wansi. Awo eggye lyonna ne lyambuka mu kibuga, buli omu ng'agenda butereevu mu maaso ge, ekibuga ne bakiwamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ne baleekaana, ne bafuuwa eŋŋombe; awo, abantu bwe baawulira eddoboozi ery'eŋŋombe abantu ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, bbugwe n'agwira ddala wansi, abantu ne balinnya mu kibuga, buli muntu mu maaso ge, ne bamenya ekibuga.