Joshua 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baazikiriza buli kyalimu, okuva ku musajja okutuuka ku mukazi, okuva ku muwere okutuuka ku mukadde, ssaako ente, endiga, n'endogoyi; ne babitta n'obwogi bw'ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bazikiriza byonna ebyakirimu, abasajja n’abakazi, n’abaana abato, n’ente, n’endiga, n’endogoyi ne byonna ne babizikiriza n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bazikiririza ddala ebyali mu kibuga byonna, abasajja n'abakazi, abato n'abakulu, n'ente, n'endiga, n'endogoyi, ne babitta n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batta bonna abaali mu kibuga, abasajja n'abakazi, abato era n'abakulu, awamu n'ente, n'endiga n'endogoyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bazikiririza ddala ebyali mu kibuga byonna, abasajja n'abakazi, abato n'abakulu; n'ente, n'endiga, n'endogoyi, ne babitta n'ekitala.