Joshua 6:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaali bakesse ensi nti: “Mugende mu nnyumba ya malaaya muggyemu omukazi n'ababe bonna nga bwe mwamukakasa mu kirayiro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa n’agamba abasajja ababiri abaatumibwa okuketta ensi eri nti, “Mugende muleete malaaya oli n’abantu be bonna baali nabo nga bwe mwamusuubiza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaaketta ensi nti, “Mugende mu nnyumba ey'omukazi omwenzi, mumufulumye n'abantu be bonna ne by'alina byonna nga bwe mwamulayirira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja ababiri abaakola ogw'obukessi, Yoswa n'abagamba nti: “Mugende mu nnyumba y'omukazi malaaya mumufulumye, ye n'ab'omu nnyumba ye bonna nga bwe mwamulayirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaaketta ensi nti Mugende mu nnyumba ey'omwenzi, mumufulumye omukazi, ne by'alina byonna, nga bwe mwamulayirira.