Joshua 6:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abavubuka abaaketta ne bayingira, ne baggyamu Rakabu ne kitaawe, nnyina, bannyina n'abantu be bonna. Ab'omu nnyumba ye bonna ne babassa mu kifo ebweru w'olusiisira lwa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo abavubuka abo abakessi ne bagenda ne bakola nga bwe baalagirwa, ne baleeta Lakabu malaaya, ne kitaawe, ne nnyina, ne bannyina n’abantu be bonna be yali nabo, ne babateeka ebweru w’olusiisira lw’Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abavubuka abakessi ne bayingira, ne bafulumya Lakabu, ne kitaawe, ne nnyina, ne baganda be, n'ekika kye kyonna, ne byonna by'alina; ne babafulumya, ne babateeka ebweru mu lusiisira lwa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abavubuka abakessi ne bayingira ne bafulumya Rahabu, wamu ne kitaawe ne nnyina ne baganda be, era n'abantu be abalala bonna, n'ebibye byonna, ne babaleeta, ne babateeka kumpi n'olusiisira lw'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abavubuka abakessi ne bayingira, ne bamufulumya Lakabu, ne kitaawe, ne nnyina; ne baganda be, ne byonna by'alina, era n'ekika kye kyonna ne babafulumya; ne babateeka ebweru ku lusiisira lwa Isiraeri: