Joshua 6:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bookya ekibuga n'ebyakirimu byonna, okuggyako ffeeza ne zaabu n'ebintu eby'ekikomo n'ekyuma; byo baabissa mu nkuluze y'ennyumba y'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne balyoka bookya ekibuga ne bazikiriza byonna ebyakirimu okuggyako ffeeza, zaabu n’ebintu eby’ekikomo n’eby’ekyuma bye baggyamu ne babitereka mu ggwanika ly’omu nnyumba ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga ne bakyokya omuliro, n'ebyalimu byonna; naye effeeza n'ezaabu n'ebintu eby'ekikomo, n'eby'ebyuma byonna baabissa mu ggwanika ery'ennyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekibuga ne bakyokya omuliro, n'ebyalimu byonna. Naye ffeeza ne zaabu n'ebintu eby'ekikomo n'eby'ekyuma ne babitwala mu ggwanika lya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibuga ne bakyokya omuliro, n’ebyalimu byonna: naye effeeza n'ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby'ebyuma byokka baabissa mu ggwanika ery'ennyumba ya Mukama.