Joshua 6:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yoswa yataliza malaaya Rakabu, ennyumba ya kitaawe n'abantu be bonna, kubanga yakweka abakessi Yoswa be yali atumye okuketta Yeriko; Rakabu n'asenga mu Yisirayeli n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’alekawo Lakabu malaaya n’ab’ennyumba ye era Lakabu n’abeera mu Isirayiri n’okutuusa kaakano kubanga yakweka abakessi Yoswa be yatuma okuketta ekibuga Yeriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yoswa n'awonya Lakabu omwenzi, n'ab'ennyumba ya kitaawe, ne byonna bye yalina. Lakabu n'abeera wakati mu Isiraeri, okutuusa kaakano; kubanga yakweka abakessi, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yoswa n'awonya obulamu bwa Rahabu malaaya, n'obw'ab'omu nnyumba ya kitaawe wa Rahabu oyo, n'obwa bonna be yalina, kubanga Rahabu oyo yakweka abakessi, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko. Bazzukulu ba Rahabu bakyali mu Yisirayeli ne kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Lakabu omwenzi, n'ab'ennyumba ya kitaawe ne byonna bye yalina, Yoswa n'abawonya; n'abeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano; kubanga yakweka abatume, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko.