Joshua 6:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Yoswa n'alayira ng'agamba nti: “Avumirirwe mu maaso g'Omukama aliddamu n'azimba ekibuga Yeriko. “Aliba awaddeyo muggulanda we bw'alibanga emisingi gyakyo, oba mutabani we asembayo bw'alisimba emiryango gyakyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’alayira nti, “Akolimirwe mu maaso ga Mukama omuntu yenna alyaŋŋanga nate okuzimba ekibuga kino Yeriko. Bw’alyaŋŋanga okuzimba omusingi gwakyo alifiirwa omwana we omubereberye. Ate era bw’alyaŋŋanga okuwangamu enzigi z’emiryango gyakyo, alifiirwa omwana we asembayo owoobulenzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'abalayiza ekirayiro mu biro ebyo, ng'ayogera nti, “Akolimirwe mu maaso ga Mukama oyo aliyimirira n'azimba ekibuga kino Yeriko.” “Buli alissaawo omusingi gwakyo, alifiirwa omwana we omuggulanda. Buli aliwangamu enzigi zaakyo, alifiirwa omwana we omuggalanda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro ebyo, Yoswa n'ayisa ekirangiriro eky'amaanyi ekigamba nti: “Buli agezaako okuzimba obuggya ekibuga kino Yeriko, akolimirwe mu maaso ga Mukama. Buli alissaawo omusingi gwakyo, alifiirwa omwana we omuggulanda. Buli aliwangamu enzigi zaakyo, alifiirwa omwana we omuggalanda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'abalayiza ekirayiro mu biro ebyo, ng'ayogera nti Akolimirwe mu maaso ga Mukama oyo aliyimirira n'azimba ekibuga kino Yeriko: mu kufiirwa omwana we omubereberye mw'alissizaawo emisingi gyakyo, era mu kufiirwa omwana we omuto alisimba enzigi zaakyo.