Joshua 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwetooloole ekibuga omulundi gumu buli lunaku n'abatabaazi bonna ababagalidde ebyokulwanyisa; ekyo mukikolere ennaku mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mulikyetooloola ekibuga, abalwanyi mwenna, nga mukyetooloola omulundi gumu buli lunaku. Bw'onookolanga bw'otyo okumala ennaku mukaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe n'abalwanyi bo, mujja kutambula mukyetooloole omulundi gumu buli lunaku, okumala ennaku mukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulikyetooloola ekibuga, abalwanyi mwenna, nga mukyetooloola omulundi gumu. Bw'onookolanga bw'otyo ennaku omukaaga.