Joshua 6:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe muliwulira eddoboozi ly'eŋŋombe, olwo abantu bonna ne balyoka baleekaanira waggulu n'amaanyi. Bbugwe w'ekibuga agenda kuyeguukulukuka, abantu beeyiwe butereevu mu kibuga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, bwe balifuuwa eŋŋombe ez'amayembe ag'endiga ensajja, era bwe muliwulira eddoboozi ery'eŋŋombe, abantu bonna ne balyoka baleekaanira waggulu n'eddoboozi eddene; bbugwe w'ekibuga n'agwiira ddala wansi, olwo eggye lyonna ne liyingira butereevu mu kibuga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo balifuuwa nnyo eŋŋombe. Bwe muliwulira eddoboozi ly'eŋŋombe, abantu bonna ne baleekaana mu maloboozi ag'omwanguka, ekisenge ky'ekibuga ne kiryoka kigwa. Olwo eggye lyonna ne liyingira butereevu mu kibuga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, bwe balifuuwa eŋŋombe ez'amayembe ag'endiga ensajja era bwe muliwulira eddoboozi ery'eŋŋombe, abantu bonna ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi ddene; bbugwe ow'ekibuga n'alyoka agwira ddala wansi, abantu ne balinnya buli muntu mu maaso ge.