Joshua 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa bwe yamala okwogera eri abantu, bakabona musanvu ne batandika okutambula nga bwe bafuuwa eŋŋombe, Essanduuku y'Endagaano y'Omukama ng'ebagoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga Yoswa bwe yabakalaatira, bwe batyo bakabona omusanvu ne bakulemberamu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe omusanvu ezaakolebwa mu mayembe g’endiga eza sseddume, eno nga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama bw’ebavaako emabega.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, Yoswa bwe yamala okwogera n'abantu, bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja mu maaso ga Mukama ne batambula nga bafuuwa eŋŋombe; essanduuko ey'endagaano ya Mukama ng'ebavaako emabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa bwe yamala okulagira bw'atyo abantu, bakabona omusanvu abakutte eŋŋombe omusanvu ez'amayembe g'endiga ennume nga bali mu maaso ga Mukama, ne bagenda nga bafuuwa eŋŋombe, nga bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bavaako emabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yoswa bwe yamala okwogera n'abantu, bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja mu maaso ga Mukama ne bayita, ne bafuuwa eŋŋombe: essanduuko ey'endagaano ya Mukama ng'ebavaako ennyuma.