Joshua 7:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayisirayeli tebaali beesigwa ku bisaliddwa okuzikirizibwa, ne beetwalira ku bisaliddwa okuzikirizibwa. Akani mutabani wa Karumi, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Zeraki, ow'ekika kya Yuda, yatwala ku bikolimire; obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Bayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo Mukama n’asunguwalira nnyo eggwanga lya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaana ba Isiraeri ne boonoona bwe baamenya ekiragiro kya Mukama eky'obutatwala ku bintu ebyali eby'okuzikirizibwa; kubanga Akani, mutabani wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera, ow'omukika kya Yuda, yatwala ku bintu ebyali eby'okuzikirizibwa; obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku baana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abayisirayeli ne batakuuma kiragiro kya Mukama eky'obutatwala ku bintu ebyali eby'okuzikiriza. Akani mutabani wa Karumi era muzzukulu wa Zabudi era owa Zeera ow'omu Kika kya Yuda, yatwala ku bintu ebyo, Mukama n'asunguwalira Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaana ba Isiraeri ne boonoona mu biterekeddwa: kubanga Akani, omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'atwala ku biterekeddwa: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku baana ba Isiraeri.