Joshua 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Abayisirayeli tebasobola kutalira balabe baabwe, badduka badduke, kubanga basaliddwa okuzikirizibwa. Sikyazzeemu kubeera nammwe, okuggyako nga musaanyizzaawo ebyasalirwa okuzikirizibwa ebiri mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ka mbabuulire, okuggyako nga muzikiriza omubi ali mu mmwe, Abayisirayiri tebayinza kwolekera balabe baabwe, babadduka buddusi, kubanga nsazeewo bazikirizibwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo kye kibalobera abaana ba Isiraeri okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe, ne babadduka, kubanga bafuuse baakuzikirizibwa. Sijja kuddayo kubeera nammwe wabula nga muzikirizza ekyo kye mugugubiddeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kye kiremesezza Abayisirayeli okwaŋŋanga abalabe baabwe. Badduse abalabe baabwe, kubanga bo bennyini Abayisirayeli bafuuse ba kuzikirizibwa. Sijja kwongera kubeera nammwe, wabula nga muzikirizza ebintu ebyo bye mwagaanibwa okutwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyo kye kibalobera abaana ba Isiraeri okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe, ne bakuba amabega abalabe baabwe, kubanga bafuuse abakolimiddwa, sijja kuddayo kubeera nammwe wabula nga muzikirizza ekyo kye mugugubiddeko.