Joshua 7:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Situka, tukuza abantu, obagambe nti: ‘Mwetukuze okwetegekera olw'enkya, kubanga Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agambye nti: “Yisirayeli, mu makkati go mulimu ebyasalirwa okuzikirizibwa; tojja kusobola kutalira balabe bo, okutuusa nga mubyeggyeeko.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Golokoka otukuze abantu era obategeeze beetukuze nga beetegekera olw’enkya bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri. Waliwo ebikwekeddwa mu mmwe; okuggyako nga mubikwekula temuyinza kuwangula balabe bammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, mutukuze abantu, mubagambe beetukuze, beeteekereteekere olunaku olw'enkya,” kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, “Wakati mu ggwe waliwo ebintu bye nnabalagira okuzikiriza bye mukwese mu byammwe. Temuyinza kuyimirira mu maaso g'abalabe bammwe nga temunnabiggyayo kubizikiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Situka, otukuze abantu. Bagambe beetukuze, okwetegekera olunaku lw'enkya, kubanga nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli ŋŋamba nti: ‘Ggwe Yisirayeli, mu bibyo otereseemu ebintu bye nakulagira okuzikiriza. Tojja kusobola kwaŋŋanga balabe bo nga tonnabyeggyako.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukale, mutukuze abantu, mwogere nti Mwetukulize olunaku olw'enkya: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Waliwo ekiterekeddwa wakati mu ggwe; Isiraeri: toyinza kuyimirira mu maaso g'abalabe bo; nga temunnakiggyawo ekiterekeddwa mu mmwe.