Joshua 7:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno enkya mujja kwesowolayo buli kika kinna kimu; ab'ekika Omukama ky'anaaba alonzeemu n'akalulu, bajja kwesowolayo ssiga kinna limu. Ab'essiga Omukama ly'anaaba alonzeemu n'akalulu bajja kwesowolayo nnyumba kinneemu; ate n'ab'omu nnyumba Omukama gy'anaaba alonzeemu n'akalulu, bajja kwesowolayo kinnoomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika Mukama ky’anaalondamu kinaasembera luggya ku luggya, n’oluggya Mukama lw’anaalondamu lunajja nju ku nju, era enju Mukama gy’anaalondamu enejja muntu ku muntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale enkya munaasembeza abantu mu bika byammwe; ekika Mukama ky'anaalondamu kinaasembera ng'enda zaakyo bwe ziri; n'enda Mukama gy'anaalondamu eneesembera nga ennyumba zaayo bwe ziri; n'ennyumba Mukama gy'anaalondamu eneesembera buli muntu kinnoomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bategeeze nti enkya banaaleetebwa nga bali mu bika byabwe. Ekika kye nnaalondamu, kinaavaayo, ab'ennyumba emu nga baddirirwa ab'ennyumba endala. N'ennyumba gye nnaalondamu, buli muntu anaavaayo ng'addirirwa munne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale enkya munaasemberezebwa mu bika byammwe: awo, ekika Mukama ky'anaalondamu kinaasembera ng'enda zaakyo bwe ziri; n'enda Mukama gy'anaalondamu eneesembera mu nnyumba zaayo; n'ennyumba Mukama gy'anaalondamu eneesembera buli muntu buli muntu.