Joshua 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo anaakwatibwa n'ekintu ekyasalirwa okuzikirizibwa, ajja kwokebwa omuliro wamu n'ebibye byonna, kubanga ayonoonye endagaano y'Omukama n'akola eky'obugwagwa mu Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oyo anaasangibwa n’ebintu ebiwonge anaayokebwa mu muliro ye n’ebyo byonna by’alina, kubanga amenye endagaano ya Mukama n’avumaganya Isirayiri.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaatuuka omuntu anaalondebwa mu nnyumba eyo n'asangibwa ng'akwese ekyo Mukama kye yalagira okuzikiriza, anaayokebwa omuliro ne by'alina byonna; kubanga anaaba amenye endagaano ya Mukama, era ng'akoze eky'obusirusiru mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo anaalondebwamu ng'alina ekiteekwa okuzikirizibwa, ajja kwokebwa omuliro, ye n'ebibye byonna by'alina, kubanga amenye endagaano yange, era akoze eky'obuswavu mu Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuuka anaalondebwa ng'alina ekiterekeddwa anaayokebwa omuliro, ne by'alina byonna; kubanga amenye endagaano ya Mukama, era kubanga akoze obusirusiru mu Isiraeri.