Joshua 7:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'asituka mu matulutulu, n'asembeza Yisirayeli, buli kika kinna kimu; akalulu ne kalondamu Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa yakeera nnyo n’akuŋŋaanya ebika byonna, yasookera ku kika kya Yuda era n’asembeza enju ya Yuda:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa n'agolokoka enkya ku makya, n'asembeza Isiraeri ng'ebika byabwe bwe byali; ekika kya Yuda ne kirondebwamu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera, Yoswa yazuukuka mu makya, n'aleeta Abayisirayeli nga bali mu bika byabwe. Ekika kya Yuda ne kirondebwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yoswa n'akeera enkya, n'agolokoka, n'asembeza Isiraeri ng'ebika byabwe bwe byali; n'ekika kya Yuda ne kirondebwa: