Joshua 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yasembeza ennyumba ya Zabudi, ne bavaayo buli musajja kinnoomu, akalulu ne kalondamu Akani mutabani wa Karumi, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Zeraki ow'ekika kya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate mu bo n’alondamu Akani omwana wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyumba ya Zabudi n'esembezebwa buli muntu kinnoomu. Ne Akani Mutabani wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera mu kika kya Yuda n'alondebwamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo n'aleeta ab'omu nnyumba ye kinnoomu. Akani mutabani wa Karumi era muzzukulu wa Zabudi, era muzzukulu wa Zeera ow'omu Kika kya Yuda, n'alondebwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'asembeza ennyumba ye buli muntu buli mnntu; Akani, omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'alondebwa.