Joshua 7:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yoswa n'agamba Akani nti: “Mwana wange, wa ekitiibwa Omukama, Katonda wa Yisirayeli, era muwe ettendo; mbuulira kye wakoze, tonkisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’agamba Akani nti, “Mwana wange njagala oweese Mukama Katonda wa Isirayiri ekitiibwa era omugulumizise, ombuulire ky’okoze, tonkisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'agamba Akani nti, “Mwana wange, nkwegayiridde, omuwe ekitiibwa Mukama, Katonda wa Isiraeri, omwatulire; era oŋŋambe kaakano ky'okoze; tokinkisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'agamba Akani nti: “Mwana wange, yogera amazima wano mu maaso ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, oyatule. Kaakano mbuulira ky'okoze, tokinkisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n’agamba Akani nti Mwana wange, nkwegayiridde, omuwe ekitiibwa Mukama, Katonda wa Isiraeri; omwatulire; era oŋŋambe kaakano ky'okoze; tokinkisa.