Joshua 7:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa yatuma abasajja okuva e Yeriko bagende e Ayi ekiri okumpi ne Beti-Aveni ebuvanjuba wa Beteli, n'abagamba nti: “Mwambuke, mukette ensi” Nabo ne bagenda, ne baketta Ayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’asindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, n’abakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda okuketta ekibuga Ayi, ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba bwa Beseri, n'abagamba nti, “Mugende mukette ekitundu ekyo.” Abantu ne bagenda ne baketta Ayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'atuma abantu okuva e Yeriko okugenda e Ayi, ekibuga ekiri ebuvanjuba bwa Beteli, okumpi ne Betaveni, n'abagamba bagende bakette ekitundu ekyo. Ne bagenda ne baketta Ayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda e Ayi ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba olwa Beseri, n'abagamba nti Mulinnye mukette ensi. Abantu ne balinnya ne baketta Ayi.